Munnauganda munnange, nammwe abasomi baffe mwenna abalala, mbalamusaako nga okulonda 2016 kubula mbale. Nga bwe tuzze tutambulira mu Pastoral Commissions essatu, olwaleero njagadde ntangaaze ku bukulembeze, n’okulonda okubindabinda mu ggwanga lyaffe lino Uganda. Olwo nno olaba bulungi, nti tutunuulira Yezu Kabaka, oba Omulimo gwa Eklezia ogw’okulambika abanti n’ensi yonna, nga tulabira ku Yezu Kabaka waffe.
Ku luno njagala tutunuulire Motto y’eggwanga lyaffe “Ku Lwa Katonda n’ensi Yange“ eragira ddala obulungi ennyo Omulamwa ogwo waggulu. Ddala kituufu, Uganda yetaaga Bannabyaggwanga so si Bannabyabufuzi; anti ne Kabaka waffe Yezu atugamba nti yajja kuwereza sso si kuwerezebwa (Mk. 10:45).
Mu byonna, tuwereze Katonda, kko ensi yaffe. Olwo ne twebuuza nti nga tulina Motto eyo, tutendeke, tuwagire era tulonde Bannabyaggwanga oba Bannabyabufuzi?
Ono ye muntu alina omutima gwe ggwangalye era nga yye tasooka kutunuulira Ddiini, Kibiina, oba kitundu oyo eyesimbyewo mw’asibuka, wabula obulungi n’obusobozi bw’omuntu oyo!
Ono yye anoonya an’akolera eggwanga lyaffe ligende mu maaso, mu bulungi ne mu bubi. Kino kirabika bulungi nnyo mu Team z’omupiira oba ez’emizannyo emirala, naddala kati ku mutindo kweziri! Anagasa Team oyo gwe banoonya sso si wa Ddiini ki, ggwanga ki etc. Kye tuva tulaba nga Teams zino ziri ku mulembe gwa waggulu nnyo.
Kino tekiri ku bakulira Teams zino bokka wabula naffe abawagizi tuwagira Team oba omuzannyi gundi kubanga tulaba nga Team agikolera erinnya oba asamba mu ngeri etumatiza!
Munnabyaggwanga y’oyo awagira era n’alonda oyo gw’asiimye ku lw’okukulakulanya eggwanga!
Ono yye tasooka kutunuulira bulungi bwa muntu ayagala kutukulembera, wabula atunuuliramu Ddiiniye, ggwangalye oba ekibiina mw’ali?
Akabi akali wano kwe kukonzibya abantu b’eggwangalye oba Eddiiniye oba n‘ekibiinakye ku mitendera egiwerako:-
Anti Okusookera ddala kiretera ab’eddiiniye, ekibiinakye oba eggwangalye (ekitundu gy’asibuka) obutavuganya kweyongera kukuguka mu bukulembeze, kubanga baba bamanyi nti olunavaayo mu kiti ekyo, kiba kiwedde bamuwabuwi kalulu!
Ekyokubiri, kiretawo emivuyo mu kwetegekera okulonda ne mu budde bw’okulonda nga bwe tulimu kati! Anti ku ndowoza eno, yagala, gaana oyo awagira mu ngeri eyo, si lwa bulungi bwa ggwanga lyonna wabula bwa Ddiini, kika oba ekitundu gy’asibuka aba amanyi nti gw’awagira y’aba alina okuyitamu. Era emirundi mingi bw’atayitamu nga awoza baatubbye!
Okusinziira ku biriwo kati, twandisuubidde nti okulonda kwaffe mu mwaka guno kujja kuba kwa bwenkanya!
Nga tutunuulidde Motto yaffe “Ku lwa Katonda n’ensi yaffe (Uganda)“, nsaba buli Munnauganda asigale mu mutima ogwa Motto eno.
Akatundu akasooka aka Motto eno: “Ku lwa Katonda...“ kategeeza nti bino eby’obukulembeze bikoma wano ku nsi naye ate mu Katonda tugenda kusigala mu bulamu obutaggwawo nga bino eby’obukulembeze bwoku nsi kuno biwedde. Awo nno ffenna nga bwe tusibuka mu Katonda omu ono; tusigale nga twagalana yadde tetuli ba ndowoza yemu.
Akatundu akokubiri: “...n’ensi yaffe“ katujjukiza nti ekikulu nsi yaffe, gwanga lyaffe Uganda kugenda mu maaso so si kwelowozako ffekka!
Nga mmaliriza, nsaba Bannauganda bannange mwenna, abalonzi n’abatali, ab’esimbyewo n’abatesimbyewo, abanawangulwa n’abanawangulwa, tutunule emabega gye tuvudde twebaze Katonda, obudde buno bwe tulimu tububeeremu mu ssanyu na kwagala, ate ebijja mu maaso tubirengere na ssuubi!
Ku lwa Katonda n’ensi yaffe Uganda!
Pastoral Commissionar, Kampala Archdiocese